Obadiah 1:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye ly'Abayisirayeli abawaŋŋangusibwa eriri mu Kanaani lirirya ensi okutuukira ddala e Zarefati; n'abawaŋŋangusibwa b'omu Yeruzaalemu abali e Sefaradi balitwala ebibuga by'omu Negevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani, balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi; abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi, balyetwalira ebibuga mu Negebu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo ab'eggye lino ery'abaana ba Isiraeri abawaŋŋangukira mu Bakanani, balidda ne bawangula ensi ya Fonisiya okutuuka ku Zalefaasi; n'abo ab'omu ggye ly'abo abawaŋŋangukira mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi, baliwamba ebibuga eby'obukiikaddyo obwa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'eggye ly'Abayisirayeli abaawaŋŋangukira mu Kanaani, balidda ne bawangula Fenikiya, okutuukira ddala e Zalefaati. N'eggye ly'abo abaava mu Yerusaalemu ne bawaŋŋangukira mu Sefaraadi, baliwamba ebibuga eby'omu bukiikaddyo obwa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo ab'eggye lino ery'abaana ba Isiraeri abafugibwa obuddu abali mu Bakanani, baliba n'ensi okutuuka ku Zalefaasi; n'abo ab'omu Yerusaalemi abafugibwa obuddu abali mu Sefalaadi baliba n'ebibuga eby'obukiika obwa ddyo.