Obadiah 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abanunuzi balyambuka ku lusozi Siyoni okufuga olusozi lwa Ezawu. Obwakabaka buliba bwa Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni, okufuga ensozi za Esawu. Obwakabaka buliba bwa Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abanunuzi balirinnya ku lusozi Sayuuni bafuge olusozi lwa Esawu; n'obwakabaka buliba bwa Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abawanguzi ab'omu Yerusaalemu be balifuga Edomu, era Mukama ye aliba Kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abalokozi balirinnya ku lusozi Sayuuni basalire olusozi lwa Esawu omusango; n'obwakabaka buliba bwa Mukama.