Obadiah 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amalala g'omutima gwo gakulimbye, ggwe asula mu mpampagama z'olwazi, ekisulo kyo ekiwanike waggulu, agamba mu mutima gwe nti: ‘Ani alimpanulayo n'ankuba ku ttaka?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe, mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi, era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi. Mmwe aboogera nti, ‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amalala ag'omu mutima gwo gakulimbye, ggwe abeera mu mpampagama ez'olwazi, ggwe abeera eyo waggulu; ayogera mu mutima gwe nti, “Ani alimpanulayo eno n'anzisa wansi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwekulumbaza kwo kukuwubisizza. Wazimba mu lwazi olugumu, osula mu nsozi engulumivu, era weebuuza nti: ‘Alimpanulayo ye ani?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amalala ag'omu mutima gwo gakukyamizza, ggwe azimba mu biwuku eby'omu lwazi, ggwe atuula waggulu; ayogera mu mutima gwe nti Ani alinzisa wansi?