Obadiah 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bw'otumbiira ng'empungu, n'ozimba ekisu kyo mu mmunyeenye, era ndikuwanulayo.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye, ndibawanulayo ne mbasuula wansi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde ng'otuumbiira waggulu ng'empungu era ekisu kyo ne kiba ng'ekiri wakati mu munnyeenye, n'eyo ndikuwanulayo ne nkussa wansi, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wadde weewanika waggulu ng'empungu, ekisu kyo ne kiba ng'ekiri mu mmunyeenye, era ndikuwanulayo ggwe!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Newakubadde ng'olinnya mu ggulu ng'empungu era ekisu kyo nga kiteekebwa wakati mu munnyeenye, ndikussa wansi ove eyo; bw'ayogera Mukama.