Obadiah 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Singa ababbi baakuyingirira, oba abanyazi ekiro, nga wandisaanyiziddwawo! Tebandibbye ne bennyula? Singa abanozi b'emizabbibu bajja gy'oli, tebandirese ebirimba bitono?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Singa ababbi babajjira, n’abanyazi ne babalumba ekiro, akabi nga kaba kabatuuseeko. Tebandibabbyeko byonna bye baagala? Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde, tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa ababbi bajja gyoli, singa abanyazi bajja ekiro, nga wandibadde ozikirizibbwa! Tebandibbyeko ebyo ebibamala? Singa abakuŋŋanya ezabbibu bajja gyoli, tebandireseeko ezimu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ababbi n'abanyazi bwe bajja ekiro, banditutteko bye baagala. N'abanoga emizabbibu, bandireseeko egimu. Naye ggwe abalabe bo bakusaanyirizzaawo ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba ababbi bajja gy'oli, oba abanyazi ekiro (so nga ozikirira!) tebandibbye bya kubamala? oba abanozi b'ezabbibu bajja gy'oli, tebandirese zabbibu ezeerebwawo?