Obadiah 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Banno bwe mukkaanya balikusindikiriza okutuuka ku nsalo; bagenda kukulimba bakumale amaanyi; mikwano gyo be weesiga bakuteze omutego, ate ggwe tonnakitegeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo, Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula; abo abalya emmere yo balikutega omutego, balikutega omutego kyokka toliguvumbula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna abaakolagananga naawe bakugobedde ku nsalo; abo bemukkanya nabo bakuwangudde; mikwano gyo beewesiga bakutegedde akatego, tewali kutegeragana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaakolagananga nammwe, babawubisizza mmwe, ne babagoba mu nsi yammwe. Be mwali nabo emirembe, kaakano babawangudde mmwe. N'abo be mwalyanga nabo, babateze mmwe omutego. Baboogerako mmwe nti: ‘Nga tebalina magezi!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna abaalagaana gy'oli bakuwerekedde okutuuka ku nsalo; abantu abaali balina emirembe naawe bakukyamizza era bakulemye; abaalya emmere yo batega omutego wansi wo; so temuli kutegeera mu ye.