Obadiah 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo,” Omukama y'agamba, “sirisaanyaawo abagezi b'omu Edomu, n'abategeevu ku lusozi lwa Ezawu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwo, sirizikiriza bagezi b’e Edomu, abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama sigenda kuzikiriza abagezigezi okuva mu Edomu, n'okutegeera okuva mu lusozi lwa Esawu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku lwe ndibonereza Edomu, ndizikiriza ab'amagezi baamu, okutegeera ne kuggwaawo ku lusozi lwa Esawu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli sigenda kuzikiriza abagezigezi bave mu Edomu n'okutegeera kuve mu lusozi lwa Esawu? bw'ayogera Mukama.