Obadiah 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatabaazi bo balitekemuka, wattu Temani; abantu bonna obutasigalawo n'omu balisanjagibwa ku lusozi lwa Ezawu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya, era na buli muntu mu nsozi za Esawu alittibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abasajja bo abazira, bagenda kwewuunya, ggwe Temani, era abantu bonna okuva ku lusozi lwa Esawu bagenda kuggibwawo ne kitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abazira b'omu Temani balikwatibwa entiisa ku lusozi lwa Esawu, buli muntu alittibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abazira bo; ggwe Temani, balyekanga buli muntu alyoke aggibwe mu lusozi lwa Esawu era attibwe.