Philemon 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye saayagala kukola kantu nga ggwe tokkirizza, ky'okola ekirungi kireme kubeera ng'eky'etteeka, wabula kibeere ekivudde mu kwetuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ne saagala kukikola nga tonzikirizza. Saagala okole eky’ekisa olwokubanga oteekwa, wabula kikole lwa kweyagalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ssaagadde kukikola nga tonzikirizza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye saagadde kukola kintu na kimu nga tokkirizza. Nandyagadde ekirungi ky'okola okikole nga towaliriziddwa, wabula nga weeyagalidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ssaayagala kukola kigambo nga toteesezza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala.