Philemon 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndowooza yakuggyibwako akaseera, alyoke akuddizibwe nkomeredde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kiyinzika okuba nga Onesimo yakwawukanako okumala akaseera, oluvannyuma alyoke abeere naawe ebbanga lyonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n'emirembe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kiyinzika nti Onesimo yakwawukanako akaseera akatono, olyoke omweddize, abeerenga naawe bulijjo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n'emirembe;