Philemon 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga takyali muddu, wabula ng'asinga n'omuddu, owooluganda omwagalwa, omuganzi gye ndi, ate asingawo n'obuganzi gy'oli ng'omuntu ate ne mu Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga takyali muddu buddu, naye ng’asingako awo, ng’afuuse owooluganda omwagalwa ennyo, na ddala gye ndi. Kaakano ajja kubeera wa mugaso nnyo gy’oli mu mubiri ne mu Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga takyali muddu buddu, naye ng'asingako awo, ng'afuuse ow'oluganda omwagalwa, na ddala gye ndi, naye era okusingira ddala eri ggwe mu mubiri ne mu Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kaakano nga takyali muddu buddu, wabula nga wa muwendo okusinga omuddu, kubanga waaluganda omwagalwa, naddala eri nze. Ate eri ggwe kisingawo, kubanga muganda wo mu mubiri, ate era muganda wo mu Mukama waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga takyali muddu nate, naye okusinga omuddu, ow'oluganda omwagalwa, okusinga ennyo gye ndi, naye okusingira ddala eri ggwe mu mubiri era ne mu Mukama waffe.