Philemon 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Pawulo, kino nkiwandiise n'omukono gwange gwennyini nti ndikisasula, ne bwe siiyogere ku bbanja ggwe ly'onninako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino nkiwandiika mu mukono gwange nze, Pawulo, nti ndikusasula. Sijja kukugamba nti olina ebbanja lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange, nze ndisasula, sijja kukugamba nti nkubanja, era naawe wekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange gwennyini, nti nze ndisasula, newaakubadde nga naawe wennyini, obulamu bwo nze mbuyimirizzaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange, nze ndisasula: nneme okukugamba nga nkubanja era naawe wekka nate.