Philemon 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsaba nti okussa ekimu kw'olina mu kukkiriza kukole mu ggwe, omanye na buli kirungi kye tulina mu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nsaba nti nga bw’ogenda otegeeza abantu okukkiriza kwo, nabo kubanyweze mu bulamu bwabwe, nga bategeerera ddala ebirungi byonna ebiri mu ffe ku bwa Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nsaba nti okutegeeza abalala okukkiriza kwo kuleetere okumanya ebirungi bye tulina mu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nsaba Katonda nti okussa ekimu n'abalala mu kukkiriza kwo, kukusobozese okutegeerera ddala ebirungi byonna bye tufunira mu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okussa ekimu okw'okukkiriza kwo kulyoke kukolenga omulimu, mu kutegeerera ddala buli kigambo ekirungi ekiri mu mmwe, olwa Kristo.