Philemon 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwagala kwo kwansanyula bya kitalo era ne kunkubagiza, kubanga olw'okubeera ggwe, emitima gy'abatuukirivu giweweddeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olw’okwagala kwo, kubanga emitima gy’abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nfunye essanyu lingi, n'okuwummuzibwa mu mutima, ebiva mu kwagala kwo, ow'oluganda, kubanga emyoyo gy'abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Owooluganda, okwagala kwo kunsanyusa nnyo ne njaguza, kubanga emitima gy'abantu ba Katonda wagizzaamu amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nnajaguza nnyo ne nsanyuka olw'okwagala kwo, kubanga emyoyo gy'abatukuvu wagiwummuza, ow'oluganda.