Philemon 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye olw'okubeera okwagala, nkuwanjagira buwanjagizi; nze Pawulo, omukadde ate kati omusibe wa Kristu Yezu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye okwagala kwange gy’oli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye olw'okwagala nkwegayirira bwegayirizi, nze, Pawulo, omubaka era kaakano omusibe olwa Kristo Yesu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye okwagala kumpalirizza okukwegayirira obwegayirizi, newaakubadde nga ndi Pawulo, omubaka wa Kristo era kaakano omusibe we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye olw'okwagala nkwegayirira bwegayirizi, kuba nfaanana nga bwe ndi, Pawulo omukadde, era kaakano omusibe wa Kristo Yesu: