Philippians 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nandyagadde mumanye, abooluganda, nti ebyo ebintuuseeko byongedde bwongezi Vangili kugenda mu maaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye njagala mmwe okutegeera, ab'oluganda, ng'ebyambaako byongedde bwongezi kubunya bubunya njiri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, njagala mumanye nti ebyo ebyantuukako, byongera bwongezi kubunyisa Amawulire Amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye njagala mmwe okutegeera, ab'oluganda, ng'ebyambaako byajja lwa kubunya bubunya enjiri;