Philippians 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era kati wonna mu Purayitoriyo n'awalala wonna, bategedde nti ndi mu nvuba lwa Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era kino kiretedde abasserikale abakuuma kabaka, wamu n'abalala bonna okutegeera nti nnasibibwa lwa Kristo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekivuddemu, abaserikale abakuumi b'omu lubiri bonna era n'abalala bonna, bategedde nti ndi mu kkomera lwa kubanga ndi mugoberezi wa Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okusibibwa kwange ne kulyoka kulabika mu Kristo eri basserikale bonna aba kabaka, n'abalala bonna;