Philippians 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate abasinga obungi mu booluganda, nze olw'okubeera mu nvuba, beeyongedde bweyongezi kuguma, era kati bayigiriza n'obuvumu obusingawo ekigambo kya Katonda okusinga luli, nga tebaliimu kutya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ab'oluganda bangi okusibwa kwange kwongedde okubagumya, era beeyongedde okufuna obuvumu okubuulira ekigambo kya Katonda nga tebatya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olw'okusibibwa kwange, abooluganda abasinga obungi beeyongedde okwesiga Mukama, n'okuba n'obuvumu okwogera ekigambo kya Katonda nga tebatya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ab'oluganda abasinga obungi mu Mukama waffe ne balyoka baguma olw'okusibwa kwange ne beeyongeranga nnyo okwaŋŋanga okubuuliranga ekigambo kya Katonda nga tebatya.