Philippians 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu okuyigiriza batyo Kristu bakikoza buggya na kuluubirira; naye abalala bakikoza mutima mulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalala babuulira Kristo lwa buggya n'akuvuganya, naye abalala babuulira lwa bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewaawo abamu bamanyisa Kristo mu bantu lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalala babuulira Kristo lwa buggya n'okuyomba; era n'abalala bamubuulira lwa kisa: