Philippians 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye bali bayigiriza Kristu lwa kuluubirira, si na mutima mulambulukufu, wabula bagenderera kunnumya mu nvuba ze nnimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bali babuulira Kristo lwa kwawula, si mu bwesimbu, nga balowooza nga banaayongera okundeetera ennaku mu busibe bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bali, Kristo bamumanyisa mu bantu lwa kuvuganya, sso si mu mwoyo mulungi. Balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bali babuulira Kristo olw'okuyomba, si mu mazima, nga balowooza okundeetera ennaku mu kusibibwa kwange.