Philippians 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye ddala kiki? Mu buli ngeri, oba oli yeekoza bwekoza oba akolera ddala mu mazima, Kristu y'aba ayigirizibwa, ekyo kye nsanyukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi. Era nzija kweyongera okusanyuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'ekyo nsonga? Mu ngeri zonna, oba za bukuusa oba za mazima, Kristo abuulirwa, nze n'emw'ekyo nsanyuka busanyusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze nfaayo ki? Kristo kasita amanyisibwa mu bantu mu ngeri zonna, oba za bukuusa, oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi. Era nja kweyongera okusanyuka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'ekyo nsonga? wabula nga mu ngeri zonna, oba mu bukuusa oba mu mazima, Kristo abuulirwa; n'ekyo nkisanyukidde, weewaawo era ndisanyuka.