Philippians 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala nzija kwongera okusanyuka, kubanga mmanyi ng'olw'essaala zammwe n'okuyambibwa Mwoyo wa Yezu Kristu kino kijja kunviiramu obulokofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala nteekwa okusanyuka, kubanga mmanyi nti olw'okusaba kwammwe, n'olw'obuyambi bw'Omwoyo wa Kristo, ndisumululwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mmanyi nti mmwe olw'okunsabira, n'olw'obuyambi bwa Mwoyo wa Yesu Kristo, nditeebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mmanyi ng'ekyo kirinviiramu obulokozi olw'okusaba kwammwe n'okuweebwa Omwoyo wa Yesu Kristo,