Philippians 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye nninda n'amaddu era kye nsuubira, nti sijja kuswala n'akatono, wabula nti ku mulundi guno Kristu anaagulumizibwa n'obuvumu bwonna mu mubiri gwange nga bulijjo, mu bulamu oba mu kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kye nduubirira era kye nsuubira nti ssirikwatibwa nsonyi mu kigambo kyonna, naye nja kuba muvumu nga bulijjo, Kristo, agulumizibwe mu mubiri gwange, oba mu bulamu oba mu kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Neesiga era nsuubirira ddala nti sijja kuswala, wabula ne kaakano nja kuguma nga bulijjo, nkole kyonna kye nsobola okugulumiza Kristo, oba mba mulamu, oba nfa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe ntunuulira ennyo ne nsuubira nga ssirikwatibwa nsonyi mu kigambo kyonna, wabula nga Kristo, ennaku zonna, era ne kaakano anaagulumizibwanga mu mubiri gwange mu buvumu bwonna, oba mu bulamu oba mu kufa.