Philippians 1:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkwatiddwa ku njuyi zombi; neegomba nsomoke, mbeere ne Kristu, ekyo kye kisinga obulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nyigirizibwa eruuyi n'eruuyi, nga nneegomba okugenda okubeera ne Kristo, kubanga ekyo kye kisingako obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwatiddwa eruuyi n'eruuyi. Neegomba okuva mu bulamu buno, ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kye kisingira ddala obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nziyizibwa enjuyi zombiriri, nga nneegomba okugenda okubeera ne Kristo; kubanga kwe kusinga ennyo nnyini: