Philippians 1:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmanyi era nkakasa nga nzija kugira nga nkyaliwo nammwe mwenna, musobole okweyongera era n'okwesiimira mu kukkiriza kwammwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino nkikakasa kubanga ntegeeredde ddala nga nja kuba nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okukula, n'okusanyukira mu kukkiriza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo nkikakasa, era mmanyi nti nja kuba nga nkyaliwo, nga ndi nammwe mwenna, mulyoke mweyongere okusanyuka n'okukula mu kukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, kubanga ntegeeredde ddala bwe ntyo, mmanyi nga ndibeera, era ndibeera wamu nammwe mwenna, olw'okuyitirira kwammwe n'okusanyuka olw'okukkiriza: