Philippians 1:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka muyise mu ngeri esaanidde Evangili ya Kristu, oba nga nzize ne mbalaba oba nga siri eyo, mbeere nga mpulira nga bwe muli abanywevu, ab'omwoyo ogumu n'emmeeme emu, nga muteganira wamu olw'okukkiriza kw'Evangili.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kyokka embeera z'obulamu bwammwe, zibeere nga bwe kigwanira Enjiri ya Kristo, bwe ndijja okubalabako oba nga ssiriiwo, ndyoke mpulire ebifa gye muli, nga munywedde mu mwoyo gumu, nga mulwaniriranga okukkiriza okw'Enjiri n'emmeeme emu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kyokka obulamu bwammwe bube nga bwe kisaanira Amawulire Amalungi aga Kristo. Ne bwe ndiba nzize oba nga sizze kubalaba, njagala mpulire nti munywedde, mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw'Amawulire Amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kyokka okutambula kwammwe kubeerenga nga bwe kigwanira enjiri ya Kristo: bwe ndijja okubalabako oba nga ssiriiwo, ndyoke mpulire ebifa gye muli, nga munywedde mu mwoyo gumu, nga mulwaniriranga okukkiriza okw'enjiri n’emmeeme emu;