Philippians 1:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababalumba baleme kubatiisa n'akatono; obwo bukakafu obuva ewa Katonda nti abo bazikiridde ate nga mmwe mulokoddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temutyanga abo ababawakanya kubanga ke kabonero akakakasa nti balizikirizibwa, naye mmwe mulirokolebwa, era ekyo kiva eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nga temukangibwa balabe mu kigambo kyonna, kabeere akabonero ddala gyebali ak'okuzikirira, naye eri mmwe ka bulokozi, obuva eri Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temutya balabe bammwe. Mubeere bazira bulijjo, balyoke bamanye nti bo Katonda ajja kubazikiriza, kyokka mmwe abawonye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so nga temukangibwa balabe mu kigambo kyonna: ke kabonero ddala gye bali ak'okuzikirira, naye eri mmwe ka bulokozi, era obuva eri Katonda;