Philippians 1:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe mwaweebwa nti ku lwa Kristu muleme kukkiriza kyokka, naye n'okubonaabona muboneebone olw'okubeera ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga mwaweebwa ku lwa Kristo ekisa, si kya kumukkiriza kwokka, era naye n'okubonaabonanga ku lulwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mwaweebwa omukisa, si kukkiriza Kristo kwokka, wabula n'okubonaabona ku lulwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mwaweebwa ku lwa Kristo si kumukkiriza kwokka, era naye n'okubonaabonanga ku lulwe: