Philippians 1:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muli ku lutalo lwe lumu nange lwe mwandaba ndiko era lwe mukyampulirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira lwe ndiko kaakano, nammwe lwe muliko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muli mu lutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira nga nkyaluliko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nammwe muli ku lutalo lwe lumu, lwe mwalaba, era lwe muwulira nti nkyalwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mulina okulwana kuli kwe mwalaba gye ndi, era kwe muwulira kaakano okuli gye ndi.