Philippians 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga neebaza olw'okukwatira awamu omulimu gw'Evangili okuva olubereberye n'okutuusa kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olw'okuba nga okuviira ddala ku lubereberye n'okutuusa kaakano muli wamu nange mu mulimu ogw'okubunya Enjiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n'okutuusa kaakano, mwetaba wamu nange mu kubunyisa Amawulire Amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olw'okussa ekimu kwammwe okw'okubunya enjiri okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa kaakano;