Philippians 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kituufu nze mwenna okubateebeza ntyo, kubanga mundi ku mutima, kubanga mwagabana ku neema gye nafuna, ku busibe bwange ne ku kutaasa n'okukakasa Evangili.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kirungi ddala nze okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundi mu mutima gwange, kubanga mwenna mugabana awamu nange mu kisa, mu kusibibwa kwange era ne mu kuwolerezanga Enjiri n'okuginywezanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino kituufu nze okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga temunva ku mutima, olw'okubanga mwenna mugabana wamu nange ekisa Katonda kye yankwatirwa mu kusibibwa kwange, ne mu kulwanirira n'okunyweza Amawulire Amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe kiri ekirungi nze okulowoozanga ekyo gye muli mwenna, kubanga ndi nammwe mu mutima gwange, bwe mussa ekimu mwenna awamu nange mu kisa, mu kusibibwa kwange era ne mu kuwolerezanga enjiri n'okuginywezanga.