Philippians 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda anjulira nga bwe mbalumirwa omwoyo mwenna n'okwagala kwa Kristu Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, kubanga alaba nga bwe mbayaayaanira n'okwagala kwa Kristo Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda amanyi nga njogera mazima bwe ŋŋamba nti mwenna mbaagala n'okwagala okuva eri Kristo Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, bwe mbalumirwa omwoyo mwenna mu kusaasira kwa Kristo Yesu.