Philippians 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye nsaba, nti okwagala kwammwe kweyongerenga bulijjo, ko n'okumanya n'okutegeera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kino kye nsaba okwagala kwammwe kweyongerere ddala, nga kulimu okutegeera n'okwawula kwonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye mbasabira eri Katonda kye kino, okwagala kwammwe kweyongerenga, kujjule amagezi n'okutegeera,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kino kye nsaba okwagala kwammwe kweyongereyongerenga kusukkirirenga mu kutegeera n'okwawula kwonna: