Philippians 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga mu Kristu mulimu ekiyinza okubagumya, ekibasindika okwagala, okussa ekimu mu Mwoyo, okwagalana n'okulumirwagana,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale oba nga waliwo okubazamu amaanyi kwonna mu Kristo, oba okusikiriza kwonna okw'okwagala, oba okussa ekimu kwonna mu Mwoyo, oba okwagala okw'engeri yonna n'okusaasira,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuba aba Kristo kibawa amaanyi? Okwagala kwe kubasanyusa? Mussa kimu ne Mwoyo Mutuukirivu? Mukwatirwagana ekisa, era musaasiragana?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale oba nga waliwo okukubagiza kwonna mu Kristo, oba ng'okusanyusa kwonna okw'okwagala, oba ng'okussa ekimu kwonna okw'Omwoyo, oba ng'okusaasira n'ekisa,