Philippians 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, bannange abaagalwa, nga bwe mubadde abawulize bulijjo, si nga ndi eyo kyokka, naye kaakano n'okusingawo nga siri eyo, mufaabiinire okulokoka kwammwe mu kutya n'okukankana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, abaagalwa bange, nga bwe mubadde abawulize bulijjo nga ndi nammwe, naye kaakano nga ssiriiwo, mweyongere okuba abawulize. Mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abaagalwa, nga bwe mwali abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe, mube bawulize nnyo n'okusinga bwe mwali. Mmwe mwennyini mukolererenga okulokolebwa kwammwe, nga mutya era nga mukankana,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, abaagalwa bange, nga bwe mwawuliranga ennaku zonna, si nga nze lwe mbeerawo lwokka, naye kaakano okusinga ennyo nga ssiriiyo, mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana;