Philippians 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Katonda y'akola mu mmwe n'abawa okwagala n'okukola olw'ekyo kye yeeteesa mu kwagala kwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Katonda akolera mu mmwe, yabaagazisa era n'abasobozesa n'okukola, by'asiima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Katonda ye akolera mu mmwe okubaagazisa n'okubasobozesa okukola by'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Katonda yakoza mu mmwe okwagala n'okukola, olw'okusiima kwe okulungi.