Philippians 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mubuleko kye babavunaana, nga temuliiko musango, muli baana ba Katonda abalungi, abataliiko bbala wakati mu bantu be mulimu, ezzadde ekkyamu eryonoonefu, mwe mwakaayakanira ng'ettawaaza mu nsi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettaala mu nsi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulyoke mube nga temulina musango, wadde kye munenyezebwa, mube baana ba Katonda abatalina bbala, nga muli mu nsi ejjudde abantu ababi era aboonoonefu. Muteekwa okulabika mu bo nga muli ng'emmunyeenye ezimulisa eggulu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettabaaza z'omu nsi,