Philippians 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga munyweza ekigambo ky'obulamu. Olwo ku lunaku lwa Kristu, ndiba ne kye neetenderamu nti embiro sadduka za bwereere, saakolera busa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ngamunywezeza ekigambo eky'obulamu; ndyoke mbeere n'okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere, so ssaafubira busa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga mubatuusaako ekigambo ky'obulamu. Bwe munaakolanga bwe mutyo, ndiba n'eky'okwenyumiriza ku lunaku Kristo lw'aliddirako, kubanga ekyo kiriraga nti okufuba n'okukola kwange tebyafiira bwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mwolesa ekigambo eky'obulamu; ndyoke mbeere n'okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, kubanga ssaddukira bwereere, so ssaafubira bwereere.