Philippians 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe nnaaba mpeerezeddwayo ng'ekitone eky'okuyiwa ekigattiddwa ku kitambiro kyammwe n'ebitone eby'okukkiriza kwammwe, nandisanyuse ne njaganya nammwe mwenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nammwe mwenna:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa omusaayi gwange guyiibwa ne gutabulwa n'ekitambiro kye muwa Katonda, kwe kukkiriza kwammwe, nsanyuka ne neesiima wamu nammwe mwenna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nanmwe mwenna: