Philippians 2:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ono nno nsuubira okumusindika amangu gye muli bwe nnaamala okulaba ebyange wano nga bwe bigenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga ntegedde embeera nga bwe n'ebeera gye ndi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale oyo gwe nsuubira okutuma gye muli, amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale oyo nsuubira okumutuma amangu, kyokka bwe ndimala okulaba ebifa gye ndi: