Philippians 2:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndabye nga kyetaagisa okusindika amangu gye muli Epafuradito, owooluganda, bwe tukola, mutabaazi munnange, omubaka wammwe ate omuweereza mu bwetaavu bwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndabye nga kigwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuradito gwe mwantumira okunnyamba mu byetaago byange, era gwe nkola naye, nga tulwanira wamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nnalaba nga kigwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga;