Philippians 2:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kituufu, yalwala era kumpi kufa; kyokka Katonda yamusaasira; si ye yekka, nange yansaasira, anti nandiyimbye ennaku ku nnaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala okulwala yalwala era yali kumpi n'okufa, naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku n'eteenneeyongera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala yalwala, era yali kumpi okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira, obulumi bwange ne buteeyongerako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga okulwala yalwala yali kumpi n'okufa: naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku endala zireme okweyongera ku nnaku ze nnina.