Philippians 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubuleko kye mukola nga kiva mu kwelowoozaako ne mu kwepanka; wabula mu bwetoowaze, buli omu atwale abalala nti be bamusinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temukolanga kintu kyonna lwa kweyagaliza mwekka, oba mu bukuusa, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temukolanga kintu na kimu mu kwepanka, wadde mu kwefaako mwekka, wabula mukolenga byonna mu bwetoowaze, nga temulowooza nti mmwe musinga abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka;