Philippians 2:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabula kata afe olw'okubeera omulimu gwa Kristu. Obulamu bwe yabussa mu kabi amalirize ebyali bikyabula ku bye mwali munkolera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yabulako katono okufa olw'omulimu gwa Kristo, bwe yawaayo obulamu bwe ng'akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga yabulako katono okufa, ng'ali ku mulimu gwa Kristo, bwe yawaayo obulamu bwe, alyoke annyambe ku lwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yabulako katono afe olw'omulimu gwa Kristo, bwe yasingawo obulamu bwe alyoke atuukirize ekyabulako mu kuweereza kwammwe gye ndi.