Philippians 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu abeere nga tafa ku bibye yekka, wabula ne ku by'abalala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye buli omu ng'afaayo ne ku by'abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temufanga ku byammwe byokka, naye mufenga ne ku by'abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
temutunuuliranga buli muntu ebibyo yekka, era naye buli muntu n'eby'abalala.