Philippians 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo newandibadde nga mu ndabika yali Katonda, eky'okuba ekyenkanyi ne Katonda teyakiremerako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ye newakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, teyeerowooza kwenkanankana na Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalina obulamu obw'Obwakatonda, kyokka teyalemera ku kwenkanankana ne Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo bwe yasooka, okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda,