Philippians 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula yeemaliramu ddala, n'afaanana omuddu, n'afuuka ng'abantu bwe baba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu, era n’azaalibwa ng’omuntu, era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye yeeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'azaalibwa ng'omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wabula yeggyako ekitiibwa, n'afuuka omuweereza. Yeefuula omuntu nga ffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu;