Philippians 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'amaze okufaanana abantu, yeetoowaza, n'awulira okutuusa okufa, okufa nno ku musaalaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne yeetoowaza, n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa, ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe yessa ku mutindo gw'abantu, ne yeetoowaza, n'aba muwulize n'atuukira ddala ku kufa, ate okufa okw'oku musaalaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba.