Philippians 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisembayo, baganda bange, musanyuke mu Mukama. Ebimu okuddamu okubibawandiikira, tekinkooya, ate nammwe kibayamba okuba n'emirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eky'enkomerero, ab'oluganda, musanyukirenga Mukama waffe. Okuddamu okubawandiikira ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya nze, naye kirungi eri mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano baganda bange, musanyukirenga mu Mukama. Okuddamu ebyo bye nabawandiikira edda tekunkooya, ate mmwe kwongera kubanyweza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga Mukama waffe. Okubawandiikira ebimu tekunkonya nze, naye kuleeta mirembe gye muli.