Philippians 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Njagala mmumanye, mmanye n'amaanyi agali mu kuzuukira kwe, ngabane ne ku kubonaabona kwe, mmufaanane mu kufa kwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe era n'okugabana ku bibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye njagala kwe kutegeera Kristo era n'okutegeera amaanyi agava mu kuzuukira kwe. Njagala okugabana ku kubonaabona kwe, era n'okumufaanana mu kufa kwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe n'okussa ekimu okw'ebibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe;